Jeremiah 49:23-27

Obubaka ku Damasiko

23 aEbikwata ku Damasiko:

“Kamasi ne Alupaadi biweddemu amaanyi,
kubanga biwulidde amawulire amabi.
Bakeŋŋentereddwa,
batabuddwa ng’ennyanja esiikuuse, tebasobola kutereera.
24Ddamasiko ayongobedde,
akyuse adduke
era okutya kumukutte;
obubalagaze n’obuyinike bimunyweezezza,
obulumi nga obw’omukazi alumwa okuzaala.
25Lwaki ekibuga ekimanyiddwa tebakidduse,
ekibuga mwe nsanyukira?
26 bDdala abavubuka baakyo baligwa mu nguudo,
n’abalwanyi baakyo bonna ku olwo baakusirisibwa,”
bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
27 c“Ndiyokya bbugwe wa Ddamasiko omuliro;
gwakumalawo n’embiri za Benukadaadi.”
Copyright information for LugEEEE